Thursday 19 June 2014

OKUTENDEREZA N’ABATO

ST MBAAGA TUZINDE CATHOLIC PARISH
Sunday ey’omubiri n’omusaayi ebya Yezu Kristu

07:00-07:03
Amayingira:how great is your name?
Okulamusa:
Olwaleero tufuna okwefuumitiriza ku makulu ga Ukaristia
Mulinnya lya Patri, n’eryomwana, n’eryomwoyo mutuukirivu.Amiina
Eneema ya mukama waffe Yezu Kristu,n’okwagala kwa katonda n’okussa ekimu okwa mwoyo mutuukirivu, bibeere   namwe mwenna;
Naawe bibeere  naawe.
07:03-07:08
Okwanjula omulamwa
Mutoole mulye
Obudde bwa mawulire
07:08-07:11
Twetondere omukama olw’ensobi zaffe:
Ng’abaana twewombeeke twetondere omukama kuba tuli
 bonoonyi tusobole oku muwereza ekitambiro kyaffe nga
 kijjudde akawoowo;
Essaala Yaffe
Akulembera: Neetondera katonda omuyinza wabuli kantu:
Abaana: Nammwe baganda bange,nti nnyonoonye nnyo
mu kulowooza,kwogera,mu kukola ne mu butakola.
Gunsinze, gunsinze, gunsingidde ddala.Kyenva
 nneegayirira Maria Omutuukirivu embeerera,
 emirembe gyonna,bamalayika bonna n’abatuukirivu,
nammwe baganda bange okunsabira eri omukama
 katonda waffe.
Ayi mukama tusaasire;
Kuba tuli bonoonyi

Ayi mukama tusaasire otulage ekisa kyo;
Otulawe obulokofu bwo.
Ggwe eyatumibwa okuwonya abamenyese mu emitima,
Ayi mukama, tusaasire!
Ayi mukama tusaasire!

Ggwe eyajja okuyita abonoonyi
Ayi Kristu tusaasire!
Ayi Kristu tusaasire!
Ggwe atudde ku gwaddyo ogwa Patri ng’otuwolereza
Ayi mukama tusaasire!
Ayi mukama tusaasire!
Katonda omuyinza wa buli kantu atukwatirwe ekisa, atusonyiwe ebibi byaffe, atuuse mu bulamu obutaggwaawo.
Amiina.
07:11-07:14
Ekitiibwa
Akulembeera: Ekitiibwa kibe mu ggulu eri Katonda:
Abaana: N’emirembe gibe ku nsi ku bantu b’ayagadde atyo,Tukutenda,Tukugulumiza!Tukusinza!Tukussaamu ekitiibwa.
Bye wakola bya kitiibwa nnyo:weebale!Ayi Mukama Katonda Kabaka ow’omu ggulu Katonda Patri omuyinza wa buli kantu!
Ayi Mukama,Ggwe omwana azaalibwa omu wekka Yezu Kristu
Ayi Mukama Katonda,Akaliga ka katonda,Omwana wa Patri.Ggwe aggyawo ebibi by’ensi tusaasire.Ggwe aggyawo ebibi by’ensi wulira okuwanjaga kwaffe.Ggwe atudde ku gwa ddyo ogwa patri, tusaasire.Kuba Ggwe Mutuukirivu wekka,Ggwe Mukama wekka Ggwe osukkiridde wekka,Yezu Kristu;Wamu ne Mwoyo Mutuukirivu mu kitiibwa ekya Katonda Patri.
Amiina.
Katwegayirire,
Ayi Katonda,ng’oyita mu sakaramentu ettukuvu elya Ukaristia,erituleetera okujjukira okubonabona kwo,tukusaba tuwe okutegeera obukulu bw’omubiri n’omusaayi tusobole okufuna ebibala by’okutununula,gw’awangaala ng’olamula awamu ne Yezu Kristu, emirembe n’emirembe.Amiina
07:14- 07:24
Essomo Erisooka
Livudde mu 1 Bakorinto 10:16-17
Abooluganda, bwe twebaza Katonda olw’ekikopo ekiweebwa omukisa,tuba tetussa kimu
n’omusaayi gwa Kristu?Omugaati guli gumu, era ffe abangi tuli omubiri gumu, kubanga
tugabana ku mugaati gumu.

Ebyo omukama y’abyogera
Omwana eyetegese asoma essomo erisooka oba ery’okubiri
Bw’amala agamba”Kino kyekigambo kya katonda”
Nebaddamu:Katonda yebale!
Evanjiri:
Okwaniriza evanjiri: what the Lord has done for me…….

Allelluia Allelluia(Tetuyimba Allelluia mu kalema ne mu Adventu)

Mukasirise;Ayi mukama  longoosa omutima gwange awamu n’emimwa gyange okusobola okulangirira ekigambo kyo nga kikuweesa ettendo n’ekitiibwa.
Omukama abeere namwe;
Naawe abeere naawe.
Evanjiri  ya mukama waffe Yezu Kristu okuva mu Yowanne 6:51-58
Nga tukola akabonero tugamba:Evanjiri y’omukama njitereke mu bwongo bwange njatule n’akamwa kange.njiteeke mu mutima gwange
Evanjiri
“Omubiri gwange mmere ddala n’omusaayi gwange kyakunywa ddala.”
Nze mugaati oguwa obulamu ogwava mu ggulu.Omuntu bw’alya ku mugaati guno, aliba mulamu emirembe n’emirembe.Era omugaati gwe ndigaba okuwa abantu obulamu, gwe mubiri gwange.Awo Abayudaaya ne bawakana bokka na bokka nga bagamba nti:Ono ayinza atya okutuwa omubiri gwe okugulya?Yezu n’abagamba nti:Mazima ddala mbagamba nti bwemutalya mubiri gwa mwana wa muntu, era bwe mutanywa musaayi gwe,mu mmwe temuba na bulamu.Oyo alya omubiri gwange, era anyway omusaayi gwange, aba n’obulamu obutaggwaawo.Era ndimuzuukiza ku lunaku olw’enkomerero.Omubiri gwange kyakulya ddala, n’omusaayi gwange kyakunywa ddala.
Alya omubiri gwange, era anywa omusaayi gwange, aba munze, nange mba mu ye.Nga nze eyatumibwa Kitange bwe ndi omulamu ku bwa Kitange,n’oyo andya aliba mulamu ku bwange.Guno gwe mugaati ogwava mu ggulu.Teguli ng’ogwo bajjajja mmwe gwe baalya ne bafa.Alya omugaati guno, aliba mulamu emirembe n’emirembe.

Ng’evanjiri ewedde:Kino kye kigambo ky’omukama’
Bonna nebaddamu:Ayi Kristu ogulumizibwe!
Okuyigiriza,tufuna akagero oba akaboozi akunyuma era akanayamba abaana okutegeera evanjiri.
07:24-07:26
Okwatula Okukiriza kwaffe
Nzikiriza Katonda,
Patri omuyinza wabuli kantu omutonzi w’eggulu n’ensi ne Yezu omwana ali omu yekka Yezu eyali mu lubuto ku bwa mwoyo mutukirivu n’azaalibwa Bikira Maria n’abonabona ku mirembe gya Ponsio pilato n’akomererwa ku musaalaba n’afa, n’aziikibwa,n’azuukira ku lw’essatu nga bwekyali mu biwandiiko,n’alinya mu ggulu atudde ku gwa ddyo ogwa Patri okulamula abalamu n’abafu nzikiriza mwoyo n’Eklezia katolika ayava mu batume njatula Batisimu emu esonyiwa ebibi n’obulamu obw’emirembe egirijja
Amiina
07:24-07:26
Ebyetaago
Abaana tusobola okubawa omukisa buli asobodde n’akulembera ekyetaago kye.

1.Okosabira Eklezia,Ayi mukama tukukwasa Paapa, Ab’episikopi Abasaseredooti ne Bannaddiini mukama abayambe bulijjo okulungamya Eklezia we owo ku nsi.
2.Tusabire abaana mu nsi yonna mukama abakuume era abtaase buli kabi.
3.Tusabire abalwadde,ababonabona omukama abayambe.
4.Tusabire abazadde bonna mu nsi mukama abayambe okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe bulijjo.
Eng’ebyetaago biwedde,tusoma essaala eno:
Ayi katonda w’okwagala,tukusaba tulambike mu byonna byetukola tusobole okukola bulijjo ebyo ebikuweesa ekitiibwa awamu n’okweyambisa obulungi ebirabo byonna by’otuwa okusobola okuyamba abalala, tukikusaba nga tuyita mu Yezu Kristu mukama waffe.Amiina

Mukasirise buli omu aweeyo ekyetaago kye.
Oluyimba:
Oluvanyuma tulonde abaana abanayamba mu kukulembera .
07:26-07:30
Abaana basimba enyiriri nga bwebaleeta ebirabo by’omukama,nebasigala mu lini tusobole okugenda mw’Eklezia.